Mark 15

Yesu Atwalibwa eri Piraato

1 aAmangwago mu makya olukiiko lwa bakabona abakulu, n’abakulembeze b’Abayudaaya, n’abannyonnyozi b’amateeka lwe Lukiiko Olukulu lwonna, ne bakuŋŋaana ne basiba Yesu, ne bamuweereza ewa Piraato.

2 bPiraato n’abuuza Yesu nti, “Ggwe Kabaka w’Abayudaaya?”

Yesu n’amuddamu nti, “Oyogedde.”

3Awo bakabona abakulu ne bamulumiriza ebintu bingi. 4Naye Piraato n’addamu n’amubuuza nti, “Lwaki toliiko ky’oddamu? Laba bakulumiriza ebintu bingi.”

5 cNaye Yesu n’asirika busirisi, era Piraato n’amwewuunya nnyo.

6Ku buli mbaga, Piraato yabateeranga omusibe omu gwe baabanga bamusabye. 7Omu ku basibe mu kiseera ekyo yali ayitibwa Balaba, eyali asibiddwa ne bajeemu banne olw’okutta abantu nga bakola obwegugungo. 8Awo Piraato n’agenda eri ekibiina n’ababuuza nga bwe yateranga okukola.

9 dN’ababuuza nti, “Mwandyagadde mbasumululire kabaka w’Abayudaaya?” 10Kubanga yamanya nga bakabona abakulu bamuwaddeyo lwa buggya. 11 eNaye bakabona abakulu ne bafukuutirira ekibiina babateere Balaba sso ssi Yesu.

12Naye Piraato n’addamu n’ababuuza nti, “Omuntu ono gwe muyita kabaka w’Abayudaaya mwandyagadde mmukole ntya?”

13Ne bawowoggana nti, “Mukomerere!”

14Piraato n’ababuuza nti, “Lwaki? Azziza musango ki?” Naye bo ne beeyongera bweyongezi okuleekaana nti, “Mukomerere.”

15 fAwo Piraato okusanyusa ekibiina, n’abasumululira Balaba. N’awaayo Yesu akomererwe ng’amaze okumukuba.

Abaserikale baduulira Yesu

16 gAwo Abaserikale ne batwala Yesu mu luggya lw’olubiri, oluyitibwa Pulayitoliyo, ne bayita bannaabwe bonna abakuuma olubiri, ne bakuŋŋaana. 17Ne bamwambaza ekyambalo ekya ffulungu, ne bakola engule mu maggwa ne bagissa ku mutwe gwe. 18 hNe balyoka bamulamusa nga bwe bagamba nti, “Mirembe! Kabaka w’Abayudaaya!” 19Ne bamukuba omuggo ku mutwe, ne bamuwandulira amalusu, ne bamufukaamirira nga bwe bamuvuunamira. 20 iBwe baamala okumuduulira, ne bamwambulamu ekyambalo ekya ffulungu ne bamwambaza engoye ze, ne bamutwala okumukomerera.

Yesu akomererwa ku musaalaba

21 jBwe baali bagenda ne basanga omusajja erinnya lye Simooni ow’e Kuleene,
Kuleene kyali kibuga kikulu mu nsi y’e Libiya esangibwa mu bukiikakkono bwa Ssemazinga Afirika. Kyalimu Abayudaaya bangi, era kirabika nga Simooni yali omu ku Bayudaaya abaabeeranga mu kibuga ekyo abaali bazze okukwata Embaga ey’Okuyitako mu Yerusaalemi
kitaawe wa Alegezanda ne Luufo eyali ava mu kyalo, ne bamuwaliriza yeetikke omusaalaba gwa Yesu.
22Awo ne batwala Yesu ne bamutuusa mu kifo ekiyitibwa Gologoosa, amakulu gaakyo nti Ekifo ky’Ekiwanga. 23 lNe baddira wayini atabuddwamu envumbo ne bamuwa anyweko, naye n’amugaana.
Wayini atabuddwamu envumbo kyali kyakunywa ekyakendezanga ku bulumi. Envumbo kimera ekisangibwa mu ddungu ly’e Buwalabu ne mu bitundu ebimu ebya Afirika
24 nAwo ne bamukomerera ku musaalaba.

Ne bagabana ebyambalo bye nga babikubira akalulu.
25Baamukomerera ku ssaawa ssatu ez’enkya. 26 oNe batimba ekipande waggulu w’omutwe gwa Yesu, okwawandiikibwa nti,

“Kabaka w’Abayudaaya.”
27Waaliwo abanyazi babiri abaakomererwa awamu naye, omu ku ludda lwa Yesu olwa ddyo, n’omulala ku kkono. 28Bwe kityo Ekyawandiikibwa ne kituukirira ekigamba nti, “Yabalirwa wamu n’abamenyi b’amateeka.” 29 pAwo abaali bayitawo, ne bakoteka ku mitwe gyabwe nga bamuduulira, nga bwe bagamba nti, “Mumulaba! Wagamba okumenya Yeekaalu n’okugizimbira ennaku ssatu, 30weerokole, okke wansi okuva ku musaalaba.”

31 qBakabona abakulu n’abawandiisi nabo baali bayimiridde awo nga baduulira Yesu, nga bagamba nti, “Yalokola balala, naye ye tasobola kwerokola! 32 rGgwe! Kristo, Kabaka wa Isirayiri! Kale kka ove ku musaalaba naffe tunaakukkiriza!” N’abanyazi ababiri abaakomererwa naye, nabo ne bamuvuma.

Okufa kwa Yesu

33 sOkuva ku ssaawa mukaaga ez’omu ttuntu okutuukira ddala ku ssaawa mwenda ez’olweggulo, ekizikiza ne kikwata ensi yonna. 34 tAwo Yesu n’akoowoola n’eddoboozi eddene nti, “Eroi, Eroi, lama, sabakusaani?” Amakulu nti, “Katonda wange, Katonda wange, Lwaki onjabulidde?”

35Abamu ku bantu abaali bayimiridde awo bwe baamuwulira ne bagamba nti, “Ayita Eriya.”

36 uAwo ne wabaawo eyadduka n’addira ekyangwe n’akijjuza wayini omukaatuufu, n’akisonseka ku luti, n’akiwanika eri Yesu anyweko, nga bw’agamba nti, “Mumuleke, ka tulabe obanga Eriya anajja n’amuwannulayo!”

37 vAwo Yesu n’akoowoola n’eddoboozi ddene, n’awaayo obulamu bwe.

38 wEggigi
Eggigi ly’omu yeekaalu, lye lyayawulanga Ekifo Ekitukuvu n’Awatukuvu w’Awatukuvu. Okuyulikamu okw’ejjiji kyategeeza nga Kristo bwe yali ayingidde mu ggulu ku lwaffe, naffe tulyoke tuyingire mu Watukuvu w’Awatukuvu
ery’omu Yeekaalu ne liyulikamu wabiri okuviira ddala waggulu okutuuka wansi.
39 yOmuserikale Omuruumi eyakuliranga ekibinja ky’abaserikale ekikumi eyali ayimiridde okwolekera omusaalaba gwa Yesu, bwe yalaba enfa gye yafaamu, n’agamba nti, “Ddala ddala, omusajja ono abadde Mwana wa Katonda!”

40 zWaaliwo abakazi abaali bayimiridde awo nga beesuddeko akabanga nga balengera, okwali Maliyamu Magudaleene, ne Saalome ne Maliyamu nnyina Yakobo omuto ne Yose. 41 aaAbo baayitanga naye mu Ggaliraaya era nga bamuweereza, n’abalala bangi abajja naye e Yerusaalemi.

Okuziikibwa kwa Yesu

42 abAwo bwe bwawungeera, kubanga lunaku lwa kuteekateeka, olunaku olukulembera Ssabbiiti, 43 acYusufu ow’e Alimasaya, nga mukungu mu Lukiiko Olukulu olw’Abayudaaya, naye eyali alindirira obwakabaka bwa Katonda, n’aba muvumu n’agenda eri Piraato okusabayo omulambo gwa Yesu. 44Piraato ne yeewuunya nnyo okuba nti Yesu yafudde dda. N’atumya omuserikale Omuruumi eyali akulembera banne ekikumi, n’amubuuza obanga Yesu yafudde dda. 45 adBwe yakikakasa okuva eri omuserikale, Piraato n’awa Yusufu omulambo. 46 aeAwo Yusufu n’agula olugoye olwa linena, n’amuggya ku musaalaba, n’amuzinga mu lugoye olwa linena, n’amuteeka mu ntaana eyali etemeddwa mu lwazi, n’ayiringisa ejjinja n’aggalawo omulyango gw’entaana. 47 afMaliyamu Magudaleene ne Maliyamu nnyina Yose baaliwo era baalaba Yesu we yateekebwa.

Copyright information for LugEEEE